19/07/2023
OMWEZI GUTUUKIBWAKO MU NGERI ETABANGAWO
Lyali ssanyu jjereere okwetooloola ensi yonna olw'obuwanguzi obwajjawo olw'okutuuka ku mwezi, ogwo okwetooloolerwa enzikiriza ez'enjawulo, nga buli omu yeetegese okumanya ebigukwatako mu mulimu ogwatuumibwa Apollo 11.
Nga 20-07-1969, abantu bukadde na bukadde baali tebakyusa maaso okuva ku ntimbe zaabwe nga balondoola butereevu olugendo lw'abasajja abasatu abaakulemberwamu Neil Armstrong mu nkola ey'obuvumbuzi empya eyali yatandika ennaku 4 emabega.
Nga bino tebinnabaawo, bangi baatera okutunuulira omwezi nga eky'amagero mu bwengula wabula nga tebalina ssuubi lya kufuna bigufaako n'okugwetegereza, era kino kyabongera amaanyi nti teri kitasoboka mu kwongera okuvumbula ebintu ebirala ntoko.