ROSJ enterprises

ROSJ enterprises Contact information, map and directions, contact form, opening hours, services, ratings, photos, videos and announcements from ROSJ enterprises, Buikwe.

14/08/2022
09/08/2022
06/08/2022

Mu 1780 Abaana ba Ssekabaka kyabaggu abamu nga bakulemberwa Ssekafuuwa baamulumba mu Lubiri ne bamutemula mu bukambwe n'ebyenda ne babimubaagamu.

Bwe bamala okutta kitaabwe, badduka n'omulambo gwe n'ekigenderwa ky'okubikka akabugo, olwo omu ku bo alye Obuganda.

Abaana be Abalala nga bakulemberwa Jjunju battukiza okuyigga baganda baabwe bano era Oluvanyuma omulangira Wayima yabakwata nabo n'abatta.

Yabajjako Omulambo gwa Kitabwe n'agutwalira mukulu we Jjunju oluvannyuma eyabikka Akabugo n'afuuka Kabaka.

Jjunju ng'afuuse Kabaka, Wakayima yasenguka n'adda e Ssese olw'obutaagala kufuuka kya kutiisa eri Jjunju anti Abaganda baali batandise okubibuungeesa nti baali baagala afuuke Kabaka wabwe ate nga ye yali tayagala.

Eyo e Ssese gye yazaalira Omulangira era n'amutuuma Ssewaya.

Emirembe Emijunju bwe gyayita, kwaddako Emisemakookiro, nagyo bwe gyayita, twafuna Emimaanya okutuuka bwe gyaggwaako ne tufuna Emisuuna egyokubiri.

Kabaka Ssuuna ab'ali mu Lubiri alamula, n'afuna okumanyisibwa nti Abasajja b'e Ssese baali tebazinye, baweeweeta mpisi kkundi.

Kabaka yabatumya era n'ategeka empaka wakati w'Abakazi Abaganda n'abasajja Abasese.

Abasese baazina era okukkakkana nga basinze Abakazi Abaganda. Kabaka bw'akirowoozaamu nti olaba Abasajja Abasese bazinye batyo ate Abakazi Abasese bazina batya?

Yabatumya nabo okujja embuga basindane ne bannabwe alondeko asinga okuzina.

Abaami abaagenda e Ssese okuleeta Abakazi bwe baakomawo, baaleeta ba nsenke na ndali.

Kabaka bwe yababuuza lwaki baali bakoze batyo, baamuddamu nti Omulangira Ssewaya mutabani wa w'Omulangira Wakayima, Abakazi abalungi bonna yabeesooka era y'amuwadde bano abalina endali.

Haaa! Omanyi Ssuuna yali tabwekebera. Mangu ago yalagira Basajja be Namujulirwa ne Ssewankambo okugenda e Ssese bagolole Ssewaya ettumba. Baakola batyo era bagenda okudda kuno, Ssese baagireka ku maviivi nga ne Ssewaya adduse.

Kw'olwo baaleeta Abakyala abalungi 400, Kabaka n'Abaami be ne banyumirwa empaka.

03/04/2022
27/03/2022
09/02/2022

Address

Buikwe

Telephone

+256784291441

Website

Alerts

Be the first to know and let us send you an email when ROSJ enterprises posts news and promotions. Your email address will not be used for any other purpose, and you can unsubscribe at any time.

Shortcuts

Share